1 Kings 22:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Aramu yali alagidde abagabe be amakumi asatu mu babiri ab'ebigaali nti: “Temulumba mulala yenna, muto oba mukulu, wabula kabaka wa Yisirayeli yekka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi b’amagaali nti, “Temulwanagana na muntu yenna, kabe mutono oba mukulu, wabula kabaka wa Isirayiri yekka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaduumizi asatu mu babiri (32) ab'amagaali ge nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula mulwanyise kabaka wa Isiraeri yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Siriya yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge amakumi asatu mu abiri ag'entalo nti: “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Yisirayeli yekka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaami amakumi asatu mu babiri ab'amagaali ge ng'ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.