1 Kings 22:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagabe b'ebigaali bwe baalaba Yosafati ne bateebereza nti: “Oyo ddala ye kabaka wa Yisirayeli.” Ne bakyukira gy'ali bamulwanyise. Yosafati bwe yaleekaana,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaduumizi b’amagaali bwe baalaba Yekosafaati, ne balowooza nti, “Ddala ono ye kabaka wa Isirayiri.” Ne batanula okumulumba, naye Yekosafaati n’aleekaanira waggulu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne balowooza nti ye kabaka wa Isiraeri, ne bakyuka okumulwanyisa. Yekosafaati n'alaajana nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yehosafaati ne balowooza nti ye kabaka wa Yisirayeli, ne bakyuka okumulwanyisa. Yehosafaati n'alaajana nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti Mazima ye kabaka wa Isiraeri; ne bakyama okulwana naye: Yekosafaati n'ayogerera waggulu.