1 Kings 22:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olutalo ne luyinda olunaku lwonna; kabaka wa Yisirayeli ng'awaniriddwa mu kigaali kye ng'atunuulidde Abaaramu. Omusaayi gwakulukutanga okuva mu kiwundu, ne gukka wansi mu kigaali, akawungeezi n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olutalo ne lweyongerera ddala nnyo ku lunaku olwo, era kabaka ne bamukwatirira mu gaali lye nga litunuulaganye n’Abasuuli. Omusaayi okuva mu kiwundu kye ne gukulukuta nnyo mu gaali, n’oluvannyuma n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olutalo ne lunyinyittira nnyo ku lunaku olwo: kabaka ne bamukwatirira mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli: omusaayi ne guva mu kiwundu ne gukulukutira munda mu ggaali: n'afa akawungeezi ako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olutalo ne lunyinnyittira nnyo ku lunaku olwo. Kabaka wa Yisirayeli ne bamukwatirira mu ggaali lye okwolekera Abasiriya. Omusaayi ne guva mu kiwundu kye ne gukulukutira mu ggaali lye, n'akisa omukono akawungeezi ako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: kabaka ne bamukwatirira mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli, n'afa akawungeezi: omusaayi ne guva mu kiwundu ne gukulukutira munda w'eggaali.