1 Kings 22:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ng'enjuba egwa enduulu n'erawa mu ggye wonna nti: “Buli omu adde mu kibuga kye, adde mu nsi ye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjuba bwe yali ng’eneetera okugwa, ne waba ekirango ekyabuna mu ggye nti, “Buli muntu adde mu kibuga ky’ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y’ewaabwe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enjuba ng'eneetera okugwa, ne kirangirirwa mu ggye lyonna erya Isiraeri nti: Buli muntu addeyo mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kibuga ky'ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjuba ng'eneetera okugwa, ne kirangirirwa mu ggye lyonna erya Yisirayeli nti: “Buli muntu addeyo mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kibuga ky'ewaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne waba okulangirwa mu ggye lyonna enjuba ng'eyagala okugwa nga boogera nti Buli muntu adde mu kibuga ky'ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y'ewaabwe.