1 Kings 22:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'afa bw'atyo, n'aleetebwa mu Samariya; kabaka ne bamuziika mu Samariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’afa n’aleetebwa e Samaliya, era n’aziikibwa eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwatyo kabaka n'afa, n'atwalibwa e Samaliya n'aziikibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Kabaka Ahabu n'akisa omukono, n'aleetebwa e Samariya, n'aziikibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'afa n'aleetebwa e Samaliya; ne baziika kabaka mu Samaliya.