1 Kings 22:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baayoza ekigaali kye mu kidiba ky'e Samariya, embwa ne zikomberera omusaayi gwe, ne bamalaaya ne bakinaabiramu, ng'Omukama bwe yali ayogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne booleza eggaali lye awaali ekidiba kya Samaliya, bamalaaya we baanaabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyayogerwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne booleza eggaali ku kidiba kye Samaliya, abenzi gye baanabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe ng'ekigambo kya Mukama kye yayogera bwe kyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne booleza eggaali lye ku kidiba ky'e Samariya, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ne bamalaaya ne banaabira eyo, nga Mukama bwe yagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne booleza eggaali awali ekidiba eky'e Samaliya; embwa ne zikomba omusaayi gwe; (era abenzi baanaabiranga eyo;) ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera.