1 Kings 22:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Akabu, na byonna bye yakola, n'olubiri olw'amasanga lwe yazimba, n'ebibuga byonna bye yazimbako ebigo, byonna byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Akabu, n’ebyo bye yakola, n’olubiri lwe yazimba n’alulongoosa n’amasanga, n’ebibuga bye yazimbako bbugwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebirala byonna Akabu bye yakola, n'ennyumba gye yazimba n'agitimba n'amasanga, n'ebibuga byonna bye yazimba, byawandiikibwa mu kitabo ky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Ahabu bye yakola, n'ennyumba gye yazimba n'agitimba n'amasanga, n'ebibuga byonna bye yazimba, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akabu ne byonna bye yakola n'ennyumba ey'amasanga gye yazimba n'ebibuga byonna bye yazimba tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?