1 Kings 22:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba Yosafati nti: “Onoogenda nange tulwanyise Ramoti Gileyaadi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo n’abuuza Yekosafaati nti, “Onoogenda nange mu lutalo e Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu kabaka wa Isirayiri nti, “Nze ndi nga bw’oli abantu bange ng’abantu bo, n’embalaasi zange ng’ezizo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Isiraeri n'abuuza Yekosafaati nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi okulwana? Yekosafaati n'addamu nti Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abuuza Yehosafaati nti: “Onoogenda nange e Ramoti-Gileyaadi okulwana olutalo?” Yehosafaati n'amuddamu nti: “Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba Yekosafaati nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi okulwana? Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nze nninga ggwe bw'oli, abantu bange ng'abantu bo, embalaasi zange ng'embalaasi zo.