1 Kings 22:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati mutabani wa Asa yafuuka kabaka mu mwaka ogwokuna ogwa Akabu kabaka wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n’atandika okufuga mu Yuda mu mwaka ogw’amakumi ana ogwa Akabu kabaka wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n'atandika okufuga Yuda mu mwaka ogwokuna ogwa Akabu kabaka wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokuna nga Ahabu ye kabaka wa Yisirayeli, Yehosafaati mutabani wa Asa n'afuuka kabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n'atanula okufuga Yuda mu mwaka ogw'okuna ogwa Akabu kabaka wa Isiraeri.