1 Kings 22:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati yali wa myaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka; yafugira emyaka abiri mu etaano mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Azuba, muwala wa Siluki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekosafaati yalina emyaka egy’obukulu amakumi asatu mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi abiri mu etaano. Nnyina erinnya lye ye yali Azuba muwala wa Siruki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekosafaati yali awezzeza emyaka asatu mu etaano (35) bwe yalya obwakabaka: n'afugira emyaka abiri mu etaano (25) mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye lyali Azuba muwala wa Siruki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali wa myaka asatu mu etaano, era yafugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemu. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siluhi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekosafaati yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu etaano bwe yalya obwakabaka: n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye lyali Azuba muwala wa Siruki.