1 Kings 22:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatambulira mu kkubo lyennyini erya kitaawe Asa, era teyalivaamu; yakola ekituufu mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atambulira mu ngeri za kitaawe Asa era n’atazivaamu, ng’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, abantu ne beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwokya obubaane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati n'atambuliranga mu kkubo lyonna erya Asa kitaawe; n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ne bootereza obubaane mu bifo ebigulumivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehosafaati yali wa mpisa nnungi nga Asa kitaawe. N'atazivaamu, n'akolanga ebirungi Mukama by'asiima. Wabula ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu tebyaggyibwawo. Abantu baasigala bakyaweerayo ebitambiro era nga bakyayotereza obubaane mu bifo ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'atambuliranga mu kkubo lyonna erya Asa kitaawe; n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ne bootereza obubaane mu bifo ebigulumivu.