1 Kings 22:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati baali mirembe ne kabaka wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Yekosafaati, ebintu bye yakola, n’amaanyi ge mu ntalo, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati n'amaanyi ge ge yalaga era bwe yalwana byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Yehosafaati bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, n'entalo ze yalwana, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati n'amaanyi ge ge yalaga era bwe yalwana tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?