1 Kings 22:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo mu Edomu temwali kabaka, wabula mwalimu wassaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekosafaati yali azimbye ekibinja eky’ebyombo okugenda e Ofiri okukimangayo zaabu, naye ne bitasobola, kubanga byonna byabbira e Eziyonigeba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekosafaati n'asindika empingu ez'e Talusiisi okugenda e Ofiri okuggyayo zaabu: naye ne zitatuuka kubanga zaamenyekera e Ezyonigeba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehosafaati n'akola empingu y'amaato agasobola ennyanja ennene, ag'okugendanga mu Ofiri okukimayo zaabu, kyokka ne gatagenda, kubanga gaamenyekera mu Eziyonigeberi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekosafaati n'asiba malikebu ez'e Talusiisi ez'okugenda e Ofiri okukimayo ezaabu: naye ne zitagenda; kubanga malikebu zaamenyekera e Ezyonigeba.