1 Kings 22:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Yosafati yali azimbye empingu y'amaato ey'e Tarusisi, esaabazenga zaabu okuva e Ofiri, naye teyasobola kusitula, kubanga amaato gaseseggukira e Eziyoni-Geberi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yekosafaati nti, “Abasajja bange ka baseeyeeye n’ababo,” naye Yekosafaati n’atakyagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akaziya mutabani wa Akabu n'agamba Yekosafaati nti Abaddu bange bagende mu mpingu ya maato. Naye Yekosafaati n'agaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahaaziya mutabani wa Ahabu n'agamba Yehosafaati nti: “Abaweereza bange ka bagende wamu n'ababo mu mpingu z'amaato.” Kyokka Yehosafaati n'atakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akaziya mutabani wa Akabu n'agamba Yekosafaati nti Abaddu bange bagende n'abaddu bo mu malikebu. Naye Yekosafaati n'atakkiriza.