1 Kings 22:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yosafati nti: “Abaweereza bange basaabale n'abaweereza bo mu maato.” Yosafati n'agaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekolaamu mutabani we n’amusikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne Dawudi jjajjaawe: awo Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehosafaati n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe, mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, mutabani we Yehoraamu n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: awo Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.