1 Kings 22:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa nabo mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe; Yoramu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akaziya mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka kabaka bwa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era n’afuga Isirayiri okumala emyaka ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akaziya mutabani wa Akabu n'atandika kufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu (17) ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu nga Yehosafaati ye kabaka wa Buyudaaya, Ahaaziya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri mu Samariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akaziya mutabani wa Akabu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.