1 Kings 22:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, kubanga yagoberera amakubo ga kitaawe ne nnyina, n'amakubo ga Yerobowamu mutabani wa Nebati eyaleetera Yisirayeli okugwa mu kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yaweereza era n’asinza Baali, n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, mu ngeri zonna nga kitaawe bwe yakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aweereza Baali n'amusinza n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri mu ngeri y'emu nga kitaawe bwe yakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahaaziya n'afuuka omuweereza wa Bbaali era n'amusinzanga, n'asunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ngeri ye emu nga kitaawe bwe yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aweereza Baali n'amusinza n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri nga byonna bwe byali kitaawe bye yakola.