1 Kings 22:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yosafati nti: “Wasigaddewo omusajja omu mwe tuyinza okuyita okwebuuza ku Mukama; naye nze namukyawa, kubanga talanga kirungi ku nze, wabula kibi. Ye Mikaaya, mutabani wa Yimula.” Yosafati n'amugamba nti: “Kabaka teyandiyogedde bw'atyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Wakyaliyo omusajja omu gwe tuyinza okwebuuzaako eri Mukama erinnya lye ye Mikaaya mutabani wa Imula naye namukyawa kubanga tewali kirungi ky’alagula ku nze, wabula ebibi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Isiraeri n'addamu Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwetuyinza okubuulizaamu Mukama, Mikaaya mutabani wa Imula: naye mmukyawa; kubanga tandagulako birungi wabula ebibi. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Wakyaliwo omusajja omu gwe tuyinza okuyitamu okwebuuza ku Mukama. Oyo ye Mikaaya, mutabani wa Yimula. Kyokka simwagala, kubanga talangangako birungi ku nze, wabula ebibi.” Yehosafaati n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, toyogera bw'otyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwe tuyinza okubuulizaamu Mukama, Mikaaya mutabani wa Imula: naye mmukyawa; kubanga tandagulako birungi wabula ebibi. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo.