1 Kings 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'afuuka muko ewa Faraawo kabaka w'e Misiri, n'awasa muwala we. N'amuleeta mu Kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba olubiri lwe n'Ekiggwa ky'Omukama ne bbugwe okwetooloola Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani n’akola endagaano ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri era n’awasa muwala we. N’amuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye n’ennyumba ya Mukama, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'afuuka mukoddomi wa Falaawo kabaka w'e Misiri bwe yawasa muwala we, n'amuteeka mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye ye, n'ennyumba ya Mukama, ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni n'afuuka mukoddomi wa kabaka w'e Misiri, n'awasa muwala we, n'amuleeta mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba olubiri olulwe, n'Essinzizo lya Mukama, n'ekigo okwetooloola Ekibuga Yerusaalemu kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'abeera mukoddomi wa Falaawo kabaka w'e Misiri, n'atwala muwala wa Falaawo, n'amuleeta mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye ye, n'ennyumba ya Mukama, ne bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna.