1 Kings 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba Solomoni nti: “Kubanga kino ky'osabye, n'oteesabira kuwangaala, wadde obugagga oba okufa kw'abalabe bo, wabula ne weesabira okulamula mu butuufu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’amugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'amugamba nti Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala; teweesabidde bugagga, so teweesabidde bulamu bwa balabe bo: naye weesabidde amagezi okusalanga emisango:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'amugamba nti: “Kubanga osabye ekyo, n'oteesabira kuwangaala oba obugagga, wadde okufa kw'abalabe bo, naye ne weesabira amagezi okulamulanga mu bwenkanya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'amugamba nti Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala; so teweesabidde bugagga, so teweesabidde bulamu bwa balabe bo: naye weesabidde obutegeevu okwawulamu emisango: