1 Kings 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nzija kukukolera nga bw'osabye: nzija kukuwa omutima omutegeevu, omugezi; mu baakukulembera tewabanga, ne mu balikuddirira teriba akufaanana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, nkoze ng'ekigambo kyo bwe kiri: nkuwadde amagezi n'okutegeera; obutabaawo akwenkana abo abakusooka era ne mu abo abalikuddirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale ky'osabye nkikuwadde: nkuwadde amagezi n'okutegeera, ebisinga omulala yenna bye yali afunye ku baakusooka okubaawo, era ebisinga omulala yenna by'alifuna mu balikuddirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, nkoze ng'ekigambo kyo bwe kiri: laba, nkuwadde omutima omugezigezi era omutegeevu; obutabangawo akwenkana okusooka ggwe, so n'oluvannyuma lwo tewaligolokoka akwenkana.