1 Kings 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate nzija kukuwa na bino by'otosabye: obugagga n'ekitiibwa; mu bakabaka tewalibaawo akwenkana ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndikuwa, ne by’otosabye: obugagga n’ekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nkuwadde n'ebyo by'otosabye, obugagga n'ekitiibwa, obutabangawo kabaka mulala yenna akwenkana ennaku zonna ez'obulamu bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nkuwadde n'ebyo by'otosabye: obugagga n'ekitiibwa mu bulamu bwo bwonna, ebisinga ebya kabaka omulala yenna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nkuwadde n'ebyo by'otosabye, obugagga n'ekitiibwa, obutabangawo mu bakabaka n'omu akwenkana ennaku zo zonna.