1 Kings 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'asisimuka, kozzi nga kibadde kirooto! Bwe yadda e Yeruzaalemu, n'ayimirira mu maaso g'Essanduuku y'Omukama, n'aweereza ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu, n'abaweereza be bonna n'abafumbira embaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani n’azuukuka n’amanya nga kibadde kirooto. N’akomawo e Yerusaalemi, n’ayimirira mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, era n’agabula abaweereza be ekijjulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'azuukuka n'amanya nga kibadde kirooto: n'ajja e Yerusaalemi n'ayimirira mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'awaayo ebiweebwayo eby'emirembe, n'afumbira abaddu be bonna embaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni n'azuukuka, n'amanya nti kibadde kirooto. N'ajja e Yerusaalemu, n'ayimirira mu maaso g'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana, n'akolera abaweereza be bonna embaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'azuukuka, era, laba, kyali kirooto: n'ajja e Yerusaalemi n'ayimirira mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'awaayo ebiweebwayo olw'emirembe, n'afumbira abaddu be bonna embaga.