1 Kings 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku bo n'agamba nti: “Ssebo, mukama wange, nze n'omukazi ono, tubadde tusula mu nnyumba emu; nazaala nga ndi naye mu nnyumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bo n’amugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku bo n'ayogera nti Ayi mukama wange, nze n'omukazi ono tusula mu nnyumba emu; olwali olwo n'azaala omwana, olwali olwo nange nenzaala omwana nga ndi wamu naye mu nnyumba omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bo n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nze n'omukazi ono tusula mu nnyumba emu. Nazaala omwana nga ndi wamu n'omukazi ono mu nnyumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi omu n'ayogera nti Ai mukama wange, nze n'omukazi ono tusula mu nnyumba emu; nazaala omwana nga ndi wamu naye mu nnyumba.