1 Kings 3:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ennaku ssatu okuva nze lwe nazaala, n'ono n'azaala; twali ffekka, mu nnyumba temwalimu muntu mulala, twali bwa babiri ffeka mu nnyumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka nga nnaakamaze ennaku ssatu okuzaala, omukazi ono n'azaala naye; era twali wamu; tewaali mugenyi wamu naffe mu nnyumba, wabula ffe ffembi mu nnyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu nga mmaze okuzaala, omukazi ono naye n'azaala. Era twali wamu nga tewali muntu mulala, wabula ffe ffekka ababiri mu nnyumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka nga naakamaze ennaku ssatu okuzaala, omukazi ono n'azaala naye; era twali wamu; tewaali mugenyi wamu naffe mu nnyumba, wabula ffe fembi mu nnyumba.