1 Kings 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abantu baali bakyatambiriranga ku bifo ebigulumivu, kubanga n'okutuusa ku olwo, ekiggwa kyali tekinnazimbirwa linnya lya Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ennyumba ya Mukama yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo eby’enjawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutuusa mu biro ebyo, abantu baweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga waali tewanaba kuzimbibwawo nnyumba ya kusinzizaangaamu Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okutuusa mu kiseera ekyo, abantu baali bakyaweerayo ebitambiro mu bifo ebigulumivu eby'oku busozi, kubanga waali tewannazimbibwawo nnyumba ya kusinzizangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka abantu ne baweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga tewaali nnyumba eyazimbirwa erinnya lya Mukama okutuusa ku biro ebyo.