1 Kings 3:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kwe kuzuukuka mu ttumbi, n'aggya omwana owange ku lusegere lwange omuzaana wo nga neebase, n'amuteeka mu mikono gye, owuwe eyali afudde n'amuteeka mu mikono gyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu ttumbi n'agolokoka n'aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nga neebase, n'amuteeka mu kifuba kye, n'addira owuwe afudde n'amuteeka mu kifuba kyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi ono n'azuukuka mu ttumbi, n'aggya omwana wange mu buliri bwange nga nze omuzaana wo ndi mu tulo, n'amuteeka mu kifuba kye, n'ateeka omwana we afudde mu kifuba kyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agolokoka mu ttumbi n'aggya omwana wange mu mbiriizi zange, omuzaana wo nga yeebase, n'amuteeka mu kifuba kye, n'ateeka omwana we afudde mu kifuba kyange.