1 Kings 3:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nazuukuka ku makya nnyonse omwana wange, nga mufu! Bwe namwekkaanya ng'obudde bukedde ne ndaba nga si y'oyo gwe nali nzadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe n'agolokoka enkya okuyonsa omwana wange, nnendaba ng'afudde naye bwe nneetegereza nnendaba nga si ye mwana wange gwe nnazaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nazuukuka enkeera okuyonsa omwana wange, ne ndaba ng'afudde. Kyokka bwe namwekkaanya ng'obudde bukedde, ne ndaba nga si ye mwana owange gwe nazaala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe nnagolokoka enkya okuyonsa omwana wange, laba, ng'afudde: naye bwe nnakifumiitiriza enkya, laba, nga si ye mwana wange gwe nnazaala.