1 Kings 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi omulala n'ayanukula nti: “Si bwe kiri, omwana owange ye mulamu, owuwo ye mufu.” N'oli n'awakana nti: “Olimba. Omwana owuwo ye yafudde, owange mulamu.” Bwe batyo bwe baakaayanira mu maaso ga kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi oli omulala n’agamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.” Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, “Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Ne bawakanira mu maaso ga kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi oli omulala n'agamba nti Nedda, omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo. N'ono n'agamba nti Nedda, omufu ye mwana wo, omulamu ye mwana wange. Ne bakaayana bwe batyo mu maaso ga kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi oli omulala n'agamba nti: “Nedda, omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo.” N'ono n'agamba nti: “Nedda, omufu ye mwana wo, omulamu ye mwana wange.” Ne bakaayana bwe batyo mu maaso ga kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi omulala n'ayogera nti Nedda; naye omulamu ye mwana wange, n'omufu ye mwana wo. N'ono n'ayogera nti Nedda; naye omufu ye mwana wo, n'omulamu ye mwana wange. Bwe batyo bwe baayogera mu maaso ga kabaka.