1 Kings 3:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka n'agamba nti: “Ono agamba nti: ‘Omwana owange ye mulamu, owuwo mufu;’ n'oli n'ayanukula nti: ‘Nedda, owuwo omwana ye mufu, owange mulamu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’agamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'ayogera nti Omu agamba nti Omwana omulamu ye wange, n'omufu ye mwana wo: n'omulala agamba nti Omu ye wa munne, omulamu ye wuwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Solomooni n'agamba nti: “Omu agamba nti: ‘Omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo.’ Omulala agamba nti: ‘Nedda, omwana omufu ye wuwo, omulamu ye wange.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'ayogera nti Omu ayogera nti Ono omulamu ye mwana wange, n'omufu ye mwana wo: munne n'ayogera nti Nedda: naye omufu ye mwana wo, n'omulamu ye mwana wange.