1 Kings 3:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba nti: “Omwana omulamu mumukutulemu wabiri, ekitundu ekimu mukiwe omu, n'ekirala mukiwe omulala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba nti Musaleemu omwana omulamu, omu mumuweko ekitundu n'omulala ekitundu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kabaka n'agamba nti: “Musalemu omwana omulamu, ekitundu mukiwe omu, n'ekitundu mukiwe omulala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayogera nti Musaleemu omwana omulamu, muwe omu kitundu ne munne kitundu.