1 Kings 3:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi nnyini mwana omulamu n'akwatibwa ekisaasaazi olw'omwana we, n'agamba kabaka nti: “Nkwegayiridde, mukama wange, omwana omulamu muwe oyo; tomutta.” Naye oli ye ng'agamba nti: “Nange siimufune, naawe toomufune; asalibwemu wabiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnyina w'omwana omulamu omwoyo ne gumulumira omwana we, n'agamba kabaka nti Mukama wange, omwana temumutta. Mumuwe munnange. Naye omukazi oli omulala n'agamba nti Temubaako n'omu kuffe gwe mumuwa, mumusalemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nnyina w'omwana omulamu omwoyo ne gumulumira omwana we, n'agamba kabaka nti: “Mukama wange, omwana temumutta. Mumuwe munnange.” Naye omukazi oli omulala n'agamba nti: “Temubaako n'omu ku ffe gwe mumuwa, mumusalemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnyina w'omwana omulamu n'alyoka agamba kabaka, kubanga omwoyo gwe gwalumirwa omwana we, n'ayogera nti Ai mukama wange, muwe ye omwana mulamu, so tomutta n'akamu. Naye ye omulala n'ayogera nti Taliba wange newakubadde owuwo; mumusalemu.