1 Kings 3:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'ayanukula n'agamba nti: “Omwana omulamu mumuwe ono eyasoose; temumutta; ono ye nnyina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba nti Omwana temumutta, mumuwe omukazi eyasoose, ye nnyina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agamba nti: “Omwana temumutta, mumuwe omukazi eyasoose, ye nnyina.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'addamu n'ayogera nti Mumuwe ye omwana omulamu, so temumutta n'akamu: oyo ye nnyina.