1 Kings 3:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yenna n'awulira ensala eyo kabaka gye yasalamu, ne batya kabaka kubanga baalaba nga yalimu amagezi ga Katonda okumuyamba okulamula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri yenna n'awulira nga kabaka bwasaze omusango ogwo; ne batya kabaka ne bategeera nga Katonda yali amuwadde amagezi ag'okusalanga emisango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna bwe baawulira Kabaka Solomooni bw'asaze omusango ogwo, ne bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga baalaba nga Katonda yali amuwadde amagezi okusalanga emisango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiaeri yenna n'awulira omusango kabaka gw'asaze; ne batya kabaka: kubanga baalaba ng'amagezi ga Katonda gali mu ye, okusalanga emisango.