1 Kings 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka n'agenda e Gibewoni atambiririreyo, kubanga eyo ye waali ekifo ekisingira ddala obugulumivu. Ku mwaliiro Solomoni n'aweererezaako ebitambiro ebyokye lukumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani n’aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agenda e Gibyoni okuwaayo ssaddaaka; kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu ekikulu: n'aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezokebwa lukumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agenda e Gibiyoni okuweerayo ebitambiro, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu eky'oku kasozi ekikulu. Solomooni n'aweerayo ku alutaari y'omu kifo ekyo ebitambiro lukumi ebyokebwa nga biramba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka; kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu ekikulu: Sulemaani n'aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi.