1 Kings 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Gibewoni Omukama n'alabikira Solomoni ekiro mu kirooto, n'agamba nti: “Saba kyonna ky'oyagala, nkuwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, “Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alabikira Sulemaani e Gibyoni mu kirooto ekiro: Katonda n'amugamba nti Saba kye mba nkuwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali eyo e Gibiyoni, Mukama, Katonda n'amulabikira ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Nsaba ky'oyagala, nkikuwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'alabikira Sulemaani e Gibyoni mu kirooto ekiro: Katonda n'ayogera nti Saba kye mba nkuwa.