1 Kings 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'agamba nti: “Ggwe wakwatirwa nnyo omuweerezaawo Dawudi ekisa, kubanga yatambuliranga mu maaso go mu mazima ne mu butuukirivu n'omutima omuluŋŋamu. Oyongedde okumukuumira ekisa kino ekingi bw'owadde mutabani we atuule ku nnamulondo ye olwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani n'ayogera nti Wamukola bulungi nnyo omuddu wo Dawudi kitange, nga bwe yatambula mu maaso go mu mazima ne mu butuukirivu ne mu bugolokofu bw'omutima wamu naawe; era wamuterekera ekisa kino ekinene kubanga omuwadde omwana ow'okutuula ku ntebe ye, nga bwe kiri leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni n'agamba nti: “Bulijjo walaganga bw'oyagala ennyo kitange Dawudi omuweereza wo, kubanga yali mulungi, mwesigwa, era mwesimbu mu kukolagana naawe. Era wayongera okulaga bw'omwagala ennyo ng'omuwa omwana ow'obulenzi afuga leero mu kifo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)