1 Kings 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, ayi Mukama Katonda wange, omuweereza wo omufudde kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Sso nze ndi mwana muto, simanyi bwe naddukanya mirimu gyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano, ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo kabaka mu kifo kya Dawudi kitange: nange ndi mwana muto: simanyi kufuluma newakubadde okuyingira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, Katonda wange, nze omuddu wo onfudde kabaka mu kifo kya kitange Dawudi nga ndi mwana muto. Simanyi bya bukulembeze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nno, ai Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo kabaka mu kifo kya Dawudi kitange: nange ndi mwana muto: simanyi kufuluma newakubadde okuyingira.