1 Kings 3:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno omuweereza wo muwe omutima omutegeevu, asobole okulamula abantu bo n'okwawula ekirungi n'ekibi. Kale ani ayinza okulamula eggwanga lyo lino ekkulu liti?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale muwe omuddu wo omutima omutegeevu okusalanga emisango gy'abantu bo, njawulemu ebirungi n'ebibi: kubanga ani ayinza okusala emisango gy'eggwanga lyo lino ekkulu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mpa nze omuddu wo, amagezi ge neetaaga okulamulanga abantu bo mu bwenkanya, nsobolenga okwawula ekirungi n'ekibi. Oba si ekyo, ani ayinza okulamula eggwanga lino lyonna ekkulu bwe lityo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale muwe omuddu wo omutima omutegeevu okusalanga emisango gy'abantu bo, njawulemu ebirungi n'ebibi: kubanga ani ayinza okusala emisango gy'eggwanga lyo lino ekkulu?