1 Kings 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baana, mutabani wa Akiludi, ng'ali mu Taanaki ne Megiddo ne Beti-Seyani yenna ekiri okumpi ne Zeretana emmanga wa Yezureeli, okuva e Beti-Sani okutuuka e Abeli-Mekola n'eri emitala wa Yokumewamu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, n'e Besuseyani ekiri ku mabbali g'e Zalesani, wansi w'e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola, okuyita ku Yokumeyamu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baana mutabani wa Ahiluudi ye yalabiriranga Taanaki e Megiddo, n'ekitundu kyonna eky'e Beeti Seyani ekiriraanye ekibuga Zaretaani, mu bukiikaddyo bw'ekibuga Yezireeli, era okuva e Beeti Seyani okutuuka ku kibuga Abeeli Mehola n'okuyisa ekibuga Yokumeyaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, n'e Besuseyani ekiri ku mabbali g'e Zalesani, wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola, okuyita ku Yokumeyamu: