1 Kings 4:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Geberi, mutabani wa Wuri mu nsi y'e Gileyaadi, mu nsi y'e Sikoni kabaka w'Abaamori ne Ogi kabaka w'e Basani. Mu nsi ya kabaka eya Yuda mwalimu owessaza omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Geberi mutabani wa Uli, mu nsi ya Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w'Abamoli ne Ogi kabaka w'e Basani; naye yali omwami yekka eyali mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Geberi mutabani wa Wuri ye yalabiriranga Gileyaadi eyali ensi ya Sihoni kabaka w'Abaamori ne Ogi kabaka w'e Basani. Era waaliwo omwami omu alabirira Buyudaaya yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Geberi mutabani wa Uli, mu nsi ya Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w'Abamoli ne Ogi kabaka w'e Basani; naye yali omwami yekka eyali mu nsi.