1 Kings 4:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ba Yuda ne Yisirayeli baali bangi okwenkana omusenyu gw'ennyanja; balyanga ne banywa nga basanyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda ne Isiraeri baali bangi, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi, nga balya era nga banywa era nga basanyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu mu Buyudaaya ne mu Yisirayeli baali bangi nnyo ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Baabanga balya, nga banywa era nga basanyuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda ne Isiraeri baali bangi, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi, nga balya era nga banywa era nga basanyuka.