1 Kings 4:21 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey'Abafirisuuti, n'okutuuka ku nsalo ey'e Misiri: era baaleetanga ebirabo ne baweerezanga Sulemaani ennaku zonna ez'obulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Ewufuraate okutuuka ku nsi y'Abafilistiya n'okutuuka ku nsalo ne Misiri. Baamuwanga omusolo, era nga bamuweereza mu bbanga ery'obulamu bwe bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi ey'Abafirisuuti, n'okutuuka ku nsalo ey'e Misiri: baaleetanga ebirabo, ne baweereza Sulemaani ennaku zonna ez'obulamu bwe.