1 Kings 4:22 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo eby'oku lunaku olumu bye baasoloolezanga Sulemaani byali ebigero eby'obutta obulungi asatu (30), n'ebigero eby'obutta nkaaga (60);
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyokulya bye baasoloolezanga Solomooni ebyetaagibwanga buli lunaku, byabanga kilo kakaaga mu lukaaga ez'obuwunga bw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, ne kilo omutwalo gumu mu enkumi ssatu mu bibiri ez'obuwunga obulala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo eby'oku lunaku olumu bye baasoloolezanga Sulemaani byali ebigero eby'obutta obulungi amakumi asatu, n'ebigero eby'obutta nkaaga;