1 Kings 4:24 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani yafuganga ensi yonna eri emitala w'Omugga Fulaati, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afuga bakabaka bonna abaali emitala w'Omugga Fulaati: yalina emirembe mu njuyi zonna ezimwetooloodde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni yafuganga ensi yonna ey'ebugwanjuba bw'Omugga Ewufuraate, okuva ku Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afugiramu ne bakabaka baamu, era yali mirembe n'ensi zonna ezimwetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yafuganga ensi yonna eri emitala w'eno w'Omugga, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afuga bakabaka bonna abaali emitala w'eno w'Omugga: era yalina emirembe enjuyi zonna okumwetooloola.