1 Kings 4:25 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda ne Isiraeri bonna ne batuula mirembe ennaku zonna eza Sulemaani. Buli muntu ng'alina ennimiro ye ey'emizabbibu n'emitiini okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bbanga ery'obulamu bwe, abantu bonna mu Buyudaaya ne mu Yisirayeli, baali mirembe okuva e Daani okutuuka e Betuseba, buli omu ng'alina ennimiro ye ey'emizabbibu n'ey'emitiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda ne Isiraeri yenna ne batuula mirembe, buli muntu wansi w'omuzabbibu gwe n'omutiini gwe, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, emirembe gyonna egya Sulemaani.