1 Kings 4:27 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaami abo ekkumi n'ababiri (12) be baaleeteranga kabaka Sulemaani eby'okulya ne bonna abaaliiranga ku mmeeza ye, buli mwami mu mwezi gwe, nga tebaaganya kintu kyonna kubulawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaami be abo ekkumi n'ababiri buli omu mu mwezi ogwamuweebwa, be baalabiranga Kabaka Solomooni emmere gye yeetaaga ye n'abo bonna abaalyanga ku lujjuliro lwe. Tebaaganyanga kintu na kimu kubulawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaami abo ne balabiranga kabaka Sulemaani n'abo bonna abajja ku mmeeza ya kabaka Sulemaani ebyokulya, buli muntu mu mwezi gwe: tebaaganyanga kintu kyonna kubulawo.