1 Kings 4:34 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga gonna ne gajja okuwulira amagezi ga Sulemaani nga bava eri bakabaka bonna abaali bawulidde ku magezi ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka ab'ensi zonna ne bawulira ku magezi ge, ne batuma abantu okumuwuliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wajja ku mawanga gonna okuwulira amagezi ga Sulemaani, nga bava eri bakabaka bonna ab'ensi, abaali bawulidde ku magezi ge.