1 Kings 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yali alina abaamasaza kkumi na babiri mu Yisirayeli yenna abaasakiriranga kabaka n'ennyumba ye emmere; buli omu yaleetanga ebyetaagibwa omwezi gumu mu mwaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka n’ab’omu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Sulemaani yalina abaami kkumi na babiri (12) abaakuliranga Isiraeri yenna, abaaleeteranga kabaka n'ab'omu nnyumba ye eby'okulya, nga buli omu ku bo kimugwanira okusolooleza omwezi gumu buli mwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Solomooni yalina abaami kkumi na babiri nga be bakulira Yisirayeli yonna. Be baalabiranga kabaka n'ab'omu lubiri lwe ebyokulya, buli omu ku bo ng'asolooza ebyokulya bya mwezi gumu buli mwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Sulenaani yalina abaami kkumi na babiri abaakulira Isiraeri yenna, abaalabiranga kabaka n'ab'omu nnyumba ye ebyokulya: buli muntu kyamugwanira okusolooleza omwezi gumu buli mwaka.