1 Kings 5:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni ye yafuganga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi y'Abafilisitiini, n'okutuuka ku nsalo za Misiri. Baamuwanga omusolo, era baamuweerezanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kiramu kabaka w’e Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ng’asikidde kitaawe Dawudi, n’atuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo bwe yawulira nga bafuse amafuta ku Sulemaani okuba kabaka mu kifo kya kitaawe: n'amutumira abaddu be kubanga ng'okuva edda Kiramu yali mukwano gwa Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Hiraamu ow'e Tiiro bwe yawulira nga bafuse ku Solomooni omuzigo okusikira Dawudi kitaawe ku bwakabaka, n'amutumira abaweereza be, kubanga Hiraamu okuva edda yali mukwano gwa Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kiramu kabaka w'e Tuulo n'atuma abaddu be eri Sulemaani; kubanga yawulira nga bamufuseeko amafuta okuba kabaka mu kifo kya kitaawe: kubanga Kiramu obw'edda yayagalanga Dawudi.